Amawulire

Omusibe omulala atolose e Masaka

Omusibe omulala atolose e Masaka

Ivan Ssenabulya

August 3rd, 2018

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Essiga eddamuzi likaksizza aokutoloka kwomusibe eyaddusse mu kooti y’omulamuzi akulira court ento e Masaka Deogratius Ssejjemba oluvannyuma lw’okumusingisa omusango ogw’okukwata omwana ali wansi w’emyaka 18.

Eyadduse amanyiddwa nga David Lukwago ng’ono mutuuze w’eNkalwe mu gombolola y’eButenga mu district ye Bukomansimbi.

Kigambibwa nti Lukwago mu mwaka gwa 2016 yakwata omuwala ow’emyaka 16.

Omulamuzi Ssejjemba akkirizza okutoloka kw’omusibe ono.

Maama w’omwana eyakwatibwa agamba nti yabadde asazeewo kusonyiwa omuvubuka kyokka eky’okutoloka kibalaze ekifaananyi ekirala.

Guno gwemulundi ogwokubiri abasibe nga batoloka mu court yeemu nga nogwasembayo nga 1 ogwokusatu omwaka guno, abasibe abaali bavunaanibwa ogwokutta abantu mu bitundu bya greater Masaka okuli Galiwango Musa ne Muhammad Kiddawalime baabuuka mu maaso gomulamuzi Samuel Munobe.