Amawulire

Omuserikale Muhamad Kirumira akwatidwa.

Ivan Ssenabulya

February 1st, 2018

No comments

Bya ben Jumbe ne ssamuel ssebuliba.

 

Wano e Bulenga agavaayo galaga nga bwekabadde kabiga kenyini nga police ekwata musajja waayo Muhamad Kirumira nga   ono abade yeggalide munyumba.

Amakya ga leero police eya Flying squad ekedde mumaka ga Kirumira okumukwata, nga ono bamulanga kwogera bigambo eby’akasalo, ko n’okumenya amateeka ga police agamugaana okumala googera buli kyayagala

Mukusooka twogedeko ne Kirumira ono nga yeggalide munyumbaye , nga agamba  nti tayinza kumala gakiriza kukwatibwa kitongole ekya flying squad ky’alumiriza okubaamu bamenyi baamateeka

Wabula police erabye bino bikaaye kwekuleeta obuuma obusala enzigi, okukakana nga olugi erusaze era n’emutwala ku CPS nakaakano gyakyali.

Olunaku olw’eggulo kirumira  yakaaye nategeeza nga bwagenda okuva mu police  nga agamba nti okuva lweyayingira police abakulu baludde nga bamuyigga, songa okulwanyisa obumenyi bw’amateeka abadde akukola nga talina buyambi bwa police.