Amawulire

Omusango ogwawawabirwa omubaka Kubeketerya gugobeddwa

Omusango ogwawawabirwa omubaka Kubeketerya gugobeddwa

Ivan Ssenabulya

November 9th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Omusango gwe byokulonda ogwawawabirwa omubaka wa Bunya east mu palamenti James Kubeketerya gugobeddwa.

James Majegere Kyewalabye, bwebavuganya yeyeddukira mu kkooti nga awakanya obuwanguzi bwe.

Majegere yateegeza mu mpabaye nti waliwo okubba akalulu nókutiisatiisa abalonzi ekyamuvirako okuwangulwa.

Yali ayagala kkooti esazeemu ebyava mu kulonda erangirire okudamu okulonda

Wabula omulamuzi Issa Sserunkuma munsalaye agambye nti tewali bujjulizi bwankukunala obulaga nti omubaka kubeketerya yabba akalulu, omusango agugobye nalagira Majegere okuliyirira munne ensimbi za sasanyiliza mu muasango guno.