Amawulire

Omusango kubaali bagala okutta Gen Katumba teguwuliddwa

Omusango kubaali bagala okutta Gen Katumba teguwuliddwa

Ivan Ssenabulya

November 14th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Okuwulira omusango ogwaggurwa ku bantu 08 abagambibwa okwenyigira mu kukuba Gen Kataumba Wamala amasasi agatta muwala we ne dereeva teguwuliddwa era negwongerwayo okutuusa nga 28th/November/2022.

Ekibinja kyabano kivunaanibwa emisango omuli ogw’obutemu n’okubbisa elyanyi nga kigambibwa nti baali bebamu abenyigira mu bubbbi ku tundiro ly’ebizimbisibwa ku Cheap Hardware e Nansana nga 29/05/2019 eno nga baleka basseyo abantu 4 n’obukadde bwezakuno 385 nebubbibwa ku mudumu gw’emundu.

Obulumbaganyi obulala bwaliwo nga 27/04/2019 ku City Shoppers  Supermarket e Kanyanya mu Mpererwe eno ng’omuntu omu baaleka mufu, abalala 2 banyagibw aobukadde 6 n’emitwalo 70 era nebagezaako n’okutta Jalia Nattambi nga bakozesa emmundu.

Mu buufu bwebumu, abantu bano balowoozebwa nti bebakola obulumbaganyi ku Denivo Bakery e Kalerwe nga 16/09/2017 eno nga battayo abantu 3 okwali n’omusirikale wa Poliisi Hussein Mubiru ne Moses Kalungi era nebagezaako n’okutta Everest Hakiza.

Bano aboogerwako kwekuli Mazaifu Wampa amanyiddwa nga Kanaabe nga mugoba wa booda booda mu district y’e Luweero wamu ne Muhammad Kagugube.

Abalala Kuliko Kamada Walusimbi, Silma Kisambira, Abdul Aziz Ramadhan Dunku, Habib Ramadhan Marjan, Hussein Sseubula wamu ne Yusuf Siraje Nyanzi.

Bano baggurwako emisango egyekuusa ku kuwagira ebikorwa eby’obutujju, Okuvujjilira eby’obutujju wamu n’okubeerako ekibiina ky’obutujju kyebawagira.

Ssabawaabi wa Government Janes Frances Abodo bano yabaggulako emisago 24.

Kigambibwa nti wakati w’omwezi gw’okusatu 2015 – 2021 mu Kampala, Luweero, Kasese ne mu bitundu eby’obuvanjuba bw’eggwanga lya DRC, bano bavujjilira Hussein Lubwama abangi gwebaali bamanyi nga Master okwenyigira mu bikorwa eby’obubbi bw’ensimbi okugenda okuvujilira ebikorwa ebiseketerera ensi mu nkola ey’ekitujju.

Bono era kigambibwa nti 1/06/2021, bebaali emabega w’obulumbaganyi obwakolebwa ku Gen Katumba Wamala obwaleka nga muwala we Brenda Nantongo ne dereeva we Haruna Kayondo batiddwa

Omulamuzi Alice Kohunagi yali mu mitambo gy’omusango guno.