Amawulire

Omusango gwÓmubaka Zaake gudamu okuwulirwa enkya ya leero

Omusango gwÓmubaka Zaake gudamu okuwulirwa enkya ya leero

Ivan Ssenabulya

July 3rd, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti ya Ssemateeka olwaleero egenda kutandika okuddamu okuwulira omusango gw’okugoba omubaka wa Munisipaali y’e Mityana Francis Zaake kubwa kamisona bwa palamenti.

Zaake yawaaba mu kkooti ya Ssemateeka ng’ayagala esazeemu ekyokumuggya kubwa kamisona mu palamenti ku bigambibwa nti yavuma Sipiika Anita Among ku mikutu gya yintaneeti.

Kino kyaddiridde Zaake ne looya we okwemulugunya olw’ensala erudewo nga June 5 mu maaso gómulamuzi Geoffrey Kiryabwire eyabategeeza nti kkooti yafuna ebbula bakozi ku oluvannyuma lw’okukuzibwa kw’omulamuzi Steven Musota mu kkooti ensukkulumu.

Omulamuzi Musota y’omu ku balamuzi abataano abaawulira okusaba kwa Zaake mu June, 2022.

Abalamuzi abalala kuliko Catherine Bamugemereire, Christopher Izama Madrama, Muzamiru Kibeedi, ne Irene Mulyagonja.

Mu mpaaba ye, Zaake alaga ebintu ebyabaawo nga tannaba kuggyibwa kubwa kamisona.

Ono era agamba nti buli mmemba ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku kukwasisa empisa yafuna obukadde mukaaga basobole okuwagira ekyokumugoba.

Ababaka 155 be baakuba akalulu okuggya Zaake mu kifo kino oluvannyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okunyooma sipiika.