Amawulire

Ababaka abaakwatibwa mu Arua tebanakirizibwa kweyimirirwa.

Ababaka abaakwatibwa mu Arua tebanakirizibwa kweyimirirwa.

Ivan Ssenabulya

August 27th, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba.

Kkooti ewozesa misango gy’abantu abaakwatibwa mukulonda lwe Arua ekyagenda mu maaso n’okuwulira okusaba kwabwe, nga bano baasaba kweyimirirwa.

Abavunaanwa bali 33, wabula nga kooti esoose kukola ku 14 olw’obufunda bw’ekifo.

Abasoose okukolebwako kuliko Robert Kyagulanyi, Casiano Wadri, Gerald Karuhanga, Mike Mabikke nabalala.

Munamateeka waabano  Medrd Kubega Ssegona agambye nti bano balina obuvunanyizibwa, batuuze bayuganda abajudde, songa abalala balwadde ebitagambika.

Abamu kubeesowodeyo  okweyimirira  bano kuliko Gen mugisha Muntu ne Eddy Yawe nga bano bazze kulwa Kyagulanyi, songa Wininie Kiiza azze kulwa Casiano nabalala.

Wabula wakati mukuwulira omusango guno waliwo omu kubavunaanwa azirise naatwalibwa e bweru nga embeera mbi.

Mukaseera kano kooti ewumudem.