Amawulire

Omusango gwa Ssegirinya ne Ssewanyana ogwóbutujju teguwuliddwa

Omusango gwa Ssegirinya ne Ssewanyana ogwóbutujju teguwuliddwa

Ivan Ssenabulya

August 7th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omusango gw’obutujju oguvunanibwa ababaka ba palamenti, okuli Allan Ssewanyana owa Makindye West ne Muhammad Ssegirinya owa Kawempe North gw’ongezebwayo.

Omusango guno gwongezebwayo omulamuzi wa kkooti ya International Crimes Division, Alice Komuhangi Khaukha, oluvanyuma lwómu ku bavunnanwa Muhammad Ssegirinya okuba nti teyewulira bulungi era ajanjabibwa mu kibuga Nairobi mu Kenya.

Munnamateeka wabwe ategezeza nti Segirinya bamwongedeyo okufuna obujjanjabi obusingawo era olwa leero oba enkya wa kugenda e Germany  nga  kooti esuubila Ssegirinya okubeerawo  mu Kkooti nga 28th  omwezi guno.