Amawulire

Omusango gwa Sheik kamoga gwongezedwayo.

Ivan Ssenabulya

May 2nd, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah.

Kooti ejulirirwamu etadewo olwa nga 18 May nga olunaku kwegenda okuweera ensala yaayo kukusaba kwa Sheikh Muhammad Yunus Kamoga nga ono ayagala akirizibwe okuwoza nga ava bweru wa kooti.

Kinajukirwa nti omukulu ono yakaligibwa obulamu bwonna oluvanyuma lw’okusingisibwa emisango egy’ekusa kukutta abasiramu,kyoka najulira era nga wano waasinzidde okusaba awoze nga aba bweru wa kooti.

Kati munamateeka wa kamoga nga ono ye Robert Kagolo ategeezeza  omulamuzi aguli mu mitambo  Christopher Madrama  nti Sheikh Kamoga akadiye ekimala agenda mu myaka  66,alina ebirwadde ebikambwe ga alusa , pulesa  n’ebirara, kale nga yeetaga awoze nga ava bweru wakomera.

Mumusango guno kamoga aleese abantu 7 okumweyimirira  nga kuno kuliko Hajji Hussein Kyanjo, Imam  Iddi Kasozi Sheikh Suleman Kakeeto nabalala.

Wabula okusaba kwa kamoga omuwaabi wa government Lillian Omara akuwakanyizza nga agamba nti ebyobukadde kamoga agwana abiveeko kubanga e luzira waliyo nabamusinga emyaka, songa bwanateebwa ayinza okubula.