Amawulire

Omusango gwa Kashaka gutandika 16 mu kooti ensukulumu

Omusango gwa Kashaka gutandika 16 mu kooti ensukulumu

Ivan Ssenabulya

September 13th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Kooti ensukulumu, egenda kutandika okuwuliriza omuango gwokujulira ogwalopebwa, eyali omuwandiisi owenkalakkalira mu minisitule ya gavumenti ezebitundu nga 16 Ssebutemba 2021.

John Muhanguzi Kashaka yaddukira mu kooti esembayo, ngawakanya ekibonerezo ekyemyaka 10 ekuamuweebwa, olwokufiriza gavumenti.

Kashaka ne banne bwebaavunanibwa mu 2016, kooti ewozesa abalyake nabakenuzi baasingisbwa emisango gyobulyake nobukenuzi omulamuzi Catherine Bamugemereire bwebafiriza gavumenti obuwumbi 4 nobukade 600 olwokukola emirimu gadibe ngalye mu kugula obugaali bwaba ssentebbe bebyalo emitwalo 7 mu mwaka gwa 2011.

Kashakabaamuisba emyaka 10 nebamuwera, obutaddamu kuwereza mu gavumenti wonna okumala emyaka 10.

Teyamatira nennamula nebibonerezo ebyaweebwa omulamuzi Bamugemrirwe, naddukira mu kooti ejjulirwamu wabula nayo nenyweza ebibonerezo ebyamuweebwa.

Abalala abaavunanibwa ne Kashaka, kwaliko omubalirizi webitabo omukulu Henry Bamuturaki ne Sam Emorut Orongot eyali amyuka kamisona akola ku byokutekateeka.

Kati abalamuzi ba kooti ensukulumu, nga bakulembeddwamu Ssabalamuzi wegwanga Alfonse Chigamoy Owiny-Dollo, Ruby Opio Aweri, Stella Arach, Lilian Tibatemwa Ekirikubinza, Paul Mugamba, Ezekiel Muhanguzi ne Mike Chibita bebagenda okuwuliriza omusango gwa Kashaka, okutandika nga 16 Sebutemba.