Amawulire

Omusango gwa Gavt okusuza obubi abasirikale ba poliisi teguwuliddwa

Omusango gwa Gavt okusuza obubi abasirikale ba poliisi teguwuliddwa

Ivan Ssenabulya

November 22nd, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Okuwulira omusango ogwatwalibwa mu kkooti munnamateeka Steven Kalali nga awakanya ekya gavt okusuza obubi abasirikale ba poliisi tekugeeze mu maaso.

Omusango gwongezedwayo okutuusa nga January 12th 2023.

Kino kiddiridde omuwandiisi wa Kkooti Jameson Karemani okutegeeza enjuyi zombie eziri mu musango guno nti omulamuzi akubiriza omusango guno Dr Douglas Singiza taliiwo ali ku mirimu emirala emitongole.

Kalali yatwala Ssaabawolereza wa Gavumenti  mu kkooti enkulu ng’agamba nti embeera abaserikale ba poliisi mwe bali si ya buntu era etyoboola eddembe lyabwe.

Ayagala Kkooti eragire gavumenti efunire mangu abaserikale ba poliisi bonna mu Uganda amayumba amalungi.