Amawulire

Omusango gwa Fred Nyanzi gwakudamu okuwulirwa

Omusango gwa Fred Nyanzi gwakudamu okuwulirwa

Ivan Ssenabulya

June 24th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

kooti ejjulirwamu eragidde omusango gwa Fred Nyanzi Ssentamu guddemu okuwulirwa, ngono awakanya okulondebwa kwa Muhammad Nsereko ng’omubaka wamasekati ga Kampala.

Fred Nyanzi yakakasizza kooti ejjulirwamu nti gweyawawabira Nsereko yatekawo embeera nga kizbu okutusaako empaaba oba okumusavinga.

Nyanzi bamulagidde addemu okutwalayo empaba ye ku Nsereko, mu butongole.

Nsereko abadde awakanya omusango ogwamuggulwawo, okuwakanya obuwanguzi bwe ngagamba nti tebamuwa ku mpaaba.

Kooti ejjulirwamu bwebadde eramula, okulagira omusango guddemu okuwulirwa omuvunaanwa Nsereko tabaddeewo.