Amawulire

Omusango gwa Banubbi gwebaloopa Gavt gutandise okuwulirwa

Omusango gwa Banubbi gwebaloopa Gavt gutandise okuwulirwa

Ivan Ssenabulya

November 9th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti y’omukago gwa East Africa leero etandise okuwulira omusango gw’ab’eggwanga lya abanubbi gwe baloopa Gavumenti ebasasule ensimbi zabwe eziri eyo mu bukadde bwa doola 500 zebagamba nti zabawambibwako okuva ku zi account zaabwe ezaali mu zi bank mu mwaka gwa 1979 ku mulembe gwa President Idd Amin.

Bano abali eyo mu 1005 bakulembeddwamu sentebe w’ekibiina ki NRM owa Town Council y’e Bombo Ismail Dabule ng’ali wamu ne munnamateeka wabwe Richard Omongole nga baagala Court eno elagire gavumenti yakuno ng’eyita mu Ssabawolereza waayo einsi zaabwe zibawebwe,

Court eno etude ku Court y’eby’obusubuzi mu Kampala etude abalamuzi 5 nga bakulembeddwa omulamuzi Nestor Kayobera.

Oluuyi oluwaabi lugamba nti account zaabwe zatekebwako envumbo awataali nsonga nambulukufu.

Bagamba nti ensimbi zaabwe zikuumiddwa mu bank ya Uganda ng’emigabo naye ekyokugaana okuzibawa bakyesigamya ku mbeera y’okubeera ab’eggwanga ly’eyali omukulembeze w’eggwanga elyo Idd Amin Dada.

Okusinziira ku munnamateeka wabwe Ricard Omongole, omusango gwabwe bagutambuzza okutuuka mu Court ensukulumu  era nekkanya nabo bawebwe nsimbi zaabwe kyokka kawefube yenna owokwogerezeganya ne Ssabawolereza wa Gavumenti  n’abalala abakwatibwako ku ky’okubasasula agudde butaka.

Bagamba nti kati essuubi libali mu court eno okulagira ku ggwanga li namukago okukkiriziganya nensalawo ya Court bawebwe ensimbi zaabwe.

Court eno ekkiriziganyizza okuwulira enonga zaabwe omwaka ogujja era nebasasibwa enjuuyi zombie okuteekayo obujulizi bwabwe obutasukka nga 23/01/2023