Amawulire

Omusamize eyatta omulwaddewe asingisiddwa emisango

Omusamize eyatta omulwaddewe asingisiddwa emisango

Ivan Ssenabulya

May 25th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya,

Kkooti enkulu etula e Mukono eriko omusawo w’ekinnansi gw’esingisiza emisango 6, nga kuliko 5 gyakusaddaaka muntu n’ogumu gwakuwamba muntu eyali agenze okumusawula.

Omuvunaanwa ye Mohammed Wamala ow’e myaka 39 nga musawo w’ekinnansi ku kyalo Kisoga ekisangibwa mu disitulikiti ye Kayunga.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu George Bigirwa lutegezezza Kkooti nga Wamala bweyasaddaaka omuwala Zulaikah Mirembe Nansamba eyali omutuuze w’e Jinja eyali aweza emyaka 20 mu mwaka 2017 mu ssabo lye.

Oludda oluwaabi lunyonyodde nti Nansamba yali yetaaga okutereeza omukwano gwe n’omwagala we, nga yalina n’ebizibu ebirala, yasalawo yebuuze ku mukyala gweyali atwala nga Maama we.

Gweyali atwala nga maama we yali wa poliisi Harriet Nabitaka ngakolera ku poliisi y’eNtunda yeyamulagirira ew’omusawo w’ekinnansi, nga kigambibwa yali mu kkobaane.

Omuwala ono baamukuba ensululu ku mutwe nebamutta, ate omuvunaanwa netwala ku poliisi naloopa obutemu obwali bukoleddwa ku muwala, wabula oluvanyua kyazuuka mu kunonyereza ngono yeyamutta ngera omulambo baaguziika munda.

Kooti yeemu, evunaanye Peter Bukenya owemyaka 49 nga yeyali ow’ebyokwerinda ku kyalo ngono kigambibwa nti naye yatta Siraje Kayondo 37 nga 23 March 2017.

Oludda oluwaabi lugamba nti omuvunaanwa yateega omugenzi mu kkubo namutematema namutta ku kyalo Giira.

Bino nabyo byali mu disitulikiti ye Kayunga.