Amawulire

Omusajja owémyaka 35 afiiridde mu Kirombe

Omusajja owémyaka 35 afiiridde mu Kirombe

Ivan Ssenabulya

January 27th, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Ensisi ebutikidde abatuuze ku kyalo Butebyi mugombolola yé Mutumba mu disitulikiti y’e Namayingo, omusajja ow’emyaka 35 bwafiiridde mu kirombe kya zaabu.

Omugenzi ategerekese nga Justus Kanyankole omutuuze mu disitulikiti y’e Mubende.

Ssentebe wa LC1 mu kitundu kino, Ibra Deo agambye nti Kanyankole yafudde bweyagudde mu kirombe okunona essimu eyabadde egudde wansi mu kinnya ekiwanvu.

Poliisi ezze negyawo omulambo ne gutwala mu ddwaliro okwongera okwekebejebwa.