Amawulire

Omusajja eyazaala mumuwalawe akwatiddwa.

Ivan Ssenabulya

May 16th, 2018

No comments

Bya Getrude Mutyaba.

Waliwo omusajja akwatiddwa lw’akudda  ku muwala we n’amuzaalamu omwana .

Omukwate mutuuze we Lwabenge mu district ye Kalung kyokka nga yaddukayo ne muwalawe nga amaze okumufunyisa olubuto n’amupangisiza akazigo ku kyalo Ssaza mu Gombolola ya Katwe-Butego mu district ye Masaka.

Kigambibwa nti kaggwe ensonyi ono okwagala muwala we tekyamumalira, yaawasa n’omuwala omulala ow’emyaka 15 nga ono yadduka wa jajja we  Kiyimbwe mu Municipaali ye Masaka.

Musajja mukulu ono  abaana bano bombi abadde yabapangisiza akazigo ,kyokka nga muwala we abadde yamuzaalamu n’omwana nga kati aweza emyezi ena n’ekitundu.

Ayogerera poliisi mu greater Masaka Lameck Kigozi agamba nti Kasujja yabadde yeganye omwana gweyazaala mu muwala we kyokka baawaliriziddwa okukola DNA era nekizuulibwa nga ddala omwana wa Kasujja.