Amawulire

Omusajja bamusse awondera omukazi eyanoba

Omusajja bamusse awondera omukazi eyanoba

Ivan Ssenabulya

February 15th, 2022

No comments

Bya Barbra Nalweyiso

Poliisi e Mityana eriko abantu 4 begalidde, kigambibwa nti bekuusa ku butemu obwakoleddwa ku musajja owemyaka 36.

Omugenzi ye William Azuna nga yatiddwa ku kyalo Kyesengeze mu gombolola ye Malangala e Mityana.

Okusinziiira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu kya Wamala, Racheal Kawala bazudde nti omugenzi abadde mutuuze we Kamwenge gyabadde abeera ne mukyala we Mariza nabaana baabwe 3.

Kigambibw anti abafumbo bano baafuna obutakaanya nga 7 February ekyawalirirza mukazi we okunoba nabaana, ngabadde yanobera wa mwanyina ku kyalo Katwe-Kiwawu e Mityana.

Kigambibwa nti omusajja yazze k Sunday, okuwondera mukyala we Kiwawu kigambibwa nti gyebamutidde.