Amawulire

Omusajja ayocezza ennyumba ya mwanyina

Omusajja ayocezza ennyumba ya mwanyina

Ivan Ssenabulya

February 9th, 2022

No comments

Bya Gertude Mutyaba

Abatuuze ku kyalo Katolerwa mu gombolola ya Kibinge mu disitulikiti ye Bukomansimbi bawuniikiridde omusajja bwakakkanye ku nnyumba ya mwannyina najiteekera omuliro, byonna ebibaddemu neisirika.

Vianny Magezi yaagambibwa okukuma omuliro ku nnyumba ya mwannyina Gertrude Namukwaya, ng’oluvanyuma yamazeemu omusubi.

Okusinziira ku batuuze, bano bamaze ebbanga nga balina obutakkaanya.

Ssentebe w’egombolola ye Kibinge Deogratius Bwanika agambye nti Magezi ssi mulalu, naye abadde n’ekigendererwa ky’okulumya mwannyina.