Amawulire

Omusajja asse omwanawe lwa Mukaziwe kumunobako

Omusajja asse omwanawe lwa Mukaziwe kumunobako

Ivan Ssenabulya

September 2nd, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Omusajja ow’emyaka 34 akwatiddwa ab’obuyinza mu disitulikiti y’e Namayingo ku by’okuwa omwana we ow’emyaka 8 obutwa oluvanyuma lwa nnyina okunoba.

Omukwate mutuuze ku kyalo Busuma mu town council y’e Banda mu disitulikiti y’e Namayingo kigambibwa nti yawadde Kisakye Nagudi obutwa n’afa nga mulanga nnyina okubalekawo nanoba.

Ssentebe wa LC3 mu kitundu kino Steven Oguttu ategeezezza nti kino kyaddiridde omutemu okugenda mu maka ga bazadde b’omukyala okwegayirira omukazi addeyo maka afumbe wabula ne kitasoboka.

Oguttu agamba nti omutemu akwasiddwa poliisi nga nokunonyereza bwekugenda mu maaso.