Amawulire

Omusajja asse omwana w’omukyala

Omusajja asse omwana w’omukyala

Ivan Ssenabulya

September 23rd, 2021

No comments

Bya Barbra Nalweyiso

Ekikangabwa kigudde ku kyaalo Kigagga mu Munisipaali ye Mubende, omuvubuka Denis Kashiza bwakakkanye ku mwana wa mukyala we namutta.

Ono okutta omwana ono mujja na nnyina, akikoze mukyala we agenze ku dduuka okubaako byagula, ngobutemu buno abukoledde munda mu muzigo mwebabadde basula.

Okusinziira ku batuuze, Kashiza abadde nobutakaanya ne mukyala we era kirabika kyekimuviriddeko okutta omwana.

Oluvanyuma lwokukola obutemu buno, abinyise mu nsuwa, era  aliira ku nsiko.