Amawulire

Omusajja asse munne lwakumwagalira mukazi

Omusajja asse munne lwakumwagalira mukazi

Ivan Ssenabulya

November 5th, 2021

No comments

Poliisi mu disitulikiti ye Namisindwa eriko abasajja 4 bekutte ku misango gyobutemu.

Okusinziira ku poliisi omu ku bakwate Fred Omasete ne banne abalala 3 balumbye Isac Ekiringi nebamukuba nebamutta nga bamulanga kubabbako mukazi.

Omulambo gwa Ekiringi gwasangiddwa ku kyalo Bunandele mu gombolola ye Namboko e Namisindwa, negujibwayo okugutwala mu gwanika lyeddwaliro ekkulu e Mbale okwokebejjebwa.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Elgon Rogers Taitika agambye nti abakwate abalala kuliko Mika Obwana, nabalala abategerekeseeko erya Wanzala ne Mukwana.

Kigambibwa nti Fred Omasete abade avuganya nomugenzi ku mukazi Irene Nelima.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *