Amawulire

Omusajja asse mukazi we owo’lubuto

Omusajja asse mukazi we owo’lubuto

Ivan Ssenabulya

March 23rd, 2021

No comments

Bya Benson Tumusiime

Entiisa butikidde abatuuze ku kyalo Bunamwaya, mu Kisigora zone mu disitulikiti ye Wakiso omusajja kigambibwa bwakakanye ku mukyala we owolubuto namutta.

Oluvanyuma lokumutta yamusibidde mu kisenge, nadduka.

Ssembizzi Paul, mulirwana wabantu bano agambye nti ku lunnaku lwe Sunday, yawulidde omwaana akabnira munda mu nnyumb nga tewaliiwo anyega.

Oluvanyuma lwokwekengeera, bekozeemu omulimu nebamenya enyumba, bagudde ku mulambo.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwano Luke Owoyesigire akaksizza okufa kwomuntu ono, wabula agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso.