Amawulire

Omusajja asse maama we ne muwala we

Ivan Ssenabulya

February 27th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi mu disitulikitu ye Kanungu ebakanye n’okunonyereza ku butemu obukoleddwa omusajja owemyaka 40, kigambibwa yakidde maama we owemyaka 61 ne muwala we owemyaka 3 nabatemateema nabatta.

Abagenzi kuliko Diliano Twijukye ngono yabasse, oluvanyuma naye abatuuze nebamutta, abadde mutuuze we Kenyange mu gombolola ye Nyamirama e Kanungu.

Abalala kuliko maama Lewonia Kabasharira nomwana Jovinai Kabagambe.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kigezi Elly Maate akaksizza ettem lino, ngagambye nti yakozesezza jambiya ngalina atembeddwa emandwa.

Poliisi egemba nti okunonyereza kugenda mu maaso.