Amawulire

Omusajja akwatibwa lwakusangibwa námasasi

Omusajja akwatibwa lwakusangibwa námasasi

Ivan Ssenabulya

April 23rd, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Abobuyinza mu disitulikiti yé Jinja baliko omusajja atemera mu gyobukulu 30-gwebakutte ku bigambibwa nti yasangibwa nga alina amasasi 3 nekyambalo kya maggye.

Omukwate yasangibwa ku kyalo Buwenda mu Jinja north city Division.

Sentebe we kyalo kino Charles Kimono agambye nti abatuuze bafunye okwekengera ne babagulizako poliisi.

Ono yasangibwa ne bintu ebirala ebyamaggye.