Amawulire

Omusajja afumise mukyala we

Ivan Ssenabulya

May 2nd, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa

James Mawalo owemyaka 28 yafumisse  mukyala we   Pauline Nakityo owemyaka 25 nga  omukozi mu bbanka ya Centenary ku ttabi ly’e Mukono.

Ono mu kiseera kino apokyezza mu ddwaliro e Mualgo ekiso kyamuyuzizza olubuto, ku bbeere nemu mugongo nga kati embeera gyalimu yelarikirizza.

Nakityo agamba nti, yabadde agenze kuggya ku bba omwana waabwe ow’emyaka ebiri ne kitundu asobole okumujjanjaba kubanga abadde yagwa ng’azannya n’avaamu amannyo.

Ono ayongerako nti bwe yatuuse e Mulago ewa Mawalo yamwanirizza bulungi n’amuwa n’obugenyi kyokka bwe yayogedde ekimuleese, bba n’atabuka n’aggyayo ekiso.