Amawulire
Omusajja afumise mukaziwe ebisso
Bya Abubaker Kirunda, Polisi mu ditrict ye bugweri eriko omusajja gwewenja kubigambibwa nti yafumise mukazi we ebisso oluvanyuma lwokumutebereza nti ayenda
Bino bibadde ku kyalo buyilima mu town council ye busembatya mu district ye bugweri.
Afumitiddwa ye Sulaina Nakiziba .
Sentebe wa LC 1 Daniel Waiswa ategezeza nti omusajja olwamaze okufumita mukyalawe namalamu omusubi
Ono ayongedeko nti omusajja ono yatebereza mukaziwe okuba nga atetera neyaliko muganziwe kwekumufumita ebisso natwalibwa mu ddwaliro nga ataawa