Amawulire

Omusabiriza eyasangibwa ne mmundu addizibwayo mu Kkomera e Luzira

Omusabiriza eyasangibwa ne mmundu addizibwayo mu Kkomera e Luzira

Ivan Ssenabulya

May 8th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omusabiriza w’okunguudo eyasangibwa n’emmundu omwezi oguwedde addizibwayo ku alimanda mu kkomera e Luzira kkooti olwomuwaabi wa gavumenti obutalabikako mu kkooti enkya ya leero.

Ono avunaanibwa omusango gw’okusangibwa n’emmundu mu ngeri emenya amateeka n’okukoowa amagye.

Kintu Mayambala ow’emyaka 43 amanyiddwa nga Mayambala Mugabi yakwatiddwa poliisi ku Kalungi Plaza ku Johnstone Street mu Kampala.

Dayirekita w’abawaabi ba gavumenti era alumiriza Kintu okubeera ne byambalo byamaggye mu ngeri emenya amateeka.

Kati omulamuzi wa kkooti ku luguudo Buganda, Siena Owomugisha ayongezzaayo ensonga eno okutuusa nga May 30th 2023.