Amawulire

Omusaayi gwabatamiivu neba malaaya bagugobye

Omusaayi gwabatamiivu neba malaaya bagugobye

Ivan Ssenabulya

September 20th, 2021

No comments

Bya Stephen Otage

Ekitongole ekyeterekero lyomusaayi ekya Uganda Blood Transfusion Services balangiridde nti tebagenda kuddamu kutwala musaayi okuva muba nekolera gyange nbantu abegandanga nabantu abangi.

Abalala bebatamiivu, ngensonga gyebawadde nti kibatwaliira obudde nensimbi okwekebejja omusaayi guno, ate oluuso nebaguzulamu ebirwadde.

Bwabadde ayogerako naffe, Samuel Davis Wante nga ye clinical team leader ku Nakasero Blood Bank agambye nti okwewala ebingi byebayitamu okukebera nokulongoosa omusaayi oguva mu bantu bano basazeewo baguvireko ddala.

Agambye nti basasana ssente ku musaayi guno, wabula gyebagwera nga baguzuddemu ebirwadde okuli Mukenenya, kabotongo, Hepatitis B ne C nebirala.

Samuel Davis Wante Yagambye nti okunonyereza kwakolebwa nebazuula ngabasajja okugeza abasiraamu bekuuma nnyo okusinga ate ba malaaya. Agambye nti okulongoosa nokwekebejja unit yomusaayi emu, bakozesa $ 80.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *