Amawulire

Omusaala gwa Minista Nantaba gwakugabibwa mu kkooti

Ali Mivule

February 27th, 2015

No comments

 

Nantaba 2

Kkooti enkulu ekola ku by’ettaka eragidde kalaani wa palamenti   Jane  Kibirige  okweyanjula mu kkooti wiiki ejja n’omusaala gwaminisita omubeezi ow’ebyettaka ssaako n’ensimbi ze ez’ensako eby’omwezi guno.

Zino zakusasula bbanja ery’obukadde 23 mwemitwalo 70 ezibanjibwa Minisita Aidah Nantaba.

Ekiragiro kino kiweereddwa amyuka omuwandiisi wa kkooti  Tom Chemtai ku kusaba kwa  Abby Kasolo Kiberu agamba nti abanja Nantaba ensimzi yeyasaasanya mu musango gweyamumeggamu.

Kkooti y’alagira Nantaba  okusasula Kasolo ssente zonna zeyasasanya mu musango gweyamuwawabira ku ky’okugaba ettaka lye eri amaka amalala n’eragira omusaala gwe ogw’omwezi guno gukwatibwe.

Kkooti eno era yamulagira obutaddamu kusala misango gyattaka obuyinza abulekere kkooti.