Amawulire

Omupoliisi agambibwa okusomola ebyaama ezzeeyo e Luzira

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

officer leaks tapesOmusirikale wa poliisi agambibwa okusomola ebyama ku teepu ebya ssabapoliisi w’eggwanga asindikiddwa ajira abeera ku alimanda e luzira.

 Kino kiddiridde oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu  Lino Anguzo okusabayo akadde akalala okwekenenya okwewozaako okwawebwayo bannamateeka w’omusirikale abakulembeddwamu  Vincent Mugisha

Ronald Poteri’s awakanya enyingo ey’okuna mu teeka erikwata ku byaama mwavunanibwa.

Bannamateeka bano era bagamba edembe ly’omuntu waabwe lyatyobolwa bweyamala essaawa ezisukka mu 48 mu kadukulu nga baagala ateebwe awatali kakwakulizo konna.

Wabula omulamuzi wa kooti ya Buganda road Olive Kazarwe tawadde nsalaye omusango nagwongerayo okutuusa nga 12 omwezi guno oludda oluwaabi lwelunawayo empaaba yaalwo.