Amawulire

Omupakasi wawaka asibiddwa e myaka 13 lwakusobya ku mwana

Omupakasi wawaka asibiddwa e myaka 13 lwakusobya ku mwana

Ivan Ssenabulya

December 2nd, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omupakasi wawaka asibiddwa e myaka 13 lwakusobya ku mwana wa myaka 6 gyokka .

Tubenawe Eliabu asimbiddwa abalamuzi 3 aba kkooti ejjulirwamu nga bakulembeddwamu Muzamiry Kibeedi, Christopher Gashirabake ne Oscar John Kihika.

Kino kidiridde oluvanyuma lwokwejenenya obujjulizi obwaletebwa oludda oluwaabi nebakizula nti omwana oyo yasobezebwako.

Tubenawe omusango yaguzza nga nga Junen 21th 2014 jjajja w’omwana ono bweyali agenze munimiro okulima.

Omusajja ono omulamuzi wa kkooti enkulu Duncan Gaswaga yeyasooka okumusingisa  omusango mu mwaka gwa 2015 mu kkooti enkulu e Mbarara namusiba emyaka 13.

Wabula teyamatira nakibonerezo kyamuwebwa ng’agamba nti emyaka 13 gyali minji netekubira enduulu mu kkooti eno nayo emulagidde okukola ekibonerezo kye .