Amawulire

Omuntu omu akwatibwa ku ttemu eryakolebwa ku bantu 5 abénju emu e Masaka

Omuntu omu akwatibwa ku ttemu eryakolebwa ku bantu 5 abénju emu e Masaka

Ivan Ssenabulya

June 26th, 2023

No comments

Bya Gertrude Mutyaba,

Omuntu omu agombedwamu obwala ku by’okutta abantu bataano nga bonna banjo emu e Masaka.

Abagenzi baalumbwa abatemu abatanategerekeka mu kiro ekyakeesa olwomukaaga ku kyalo Kijonjo, mu ssaza ly’e Buwunga mu disitulikiti y’e Masaka.

Omubaka wa gavumenti atuula e Masaka, Teopista Ssenkungo ategeezeza nti omukwate ye Vincent Samula, ow’emyaka 32 nga mutuuze ku kyalo Kalugondo era taata wa waka gweyatta yali amuyita kojjaawe.

Kigambibwa nti omutemu ono emirundi egiwera abadde atiisatiisa okutta kojjaawe, ng’amulumiriza nti y’avunaanyizibwa ku kufa kwa nnyina.

Abatuuze békitundu kino basabye gavumenti okwongera ku police post eziri mu kitundu nókubawa emtoka ezikola patulo, kuba obumenyi bwa mateeka bususe.

Bano balaga ne nkola ya mayumba kumi egunjibwewo oba olyawo kinayambako mu kutebenkeza ekitundu.