Amawulire

Omuntu omu afiiridde munyanja e Mayuge

Omuntu omu afiiridde munyanja e Mayuge

Ivan Ssenabulya

November 22nd, 2023

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Omuntu omu akakasiddwa nti afudde oluvannyuma lw’empewo ey’amaanyi okukuba eryato kwebabadde batambulira mu nnyanja Nalubaale e Mayuge.

Omugenzi ategerekese nga Badiru Muwanguzi nga afiiridde ku mwalo e Bugoto mugombolola ye Bukaboli e Mayuge.

Majidu Kapadu eyali kansala wa Bugoto parish mugombolola ye Bukaboli atubuulidde nti munne wa Muwanguzi bwebabadde mulyato asimattuse okufa kuba abadde amanyi okuwuga obulungi.

Ono agamba nti eryato ababiri bano kwebabadde libadde linafu nga terisobola kusimatuka muyaga.