Amawulire

Omuntu omu afiiridde mu kabenje e Kamuli

Omuntu omu afiiridde mu kabenje e Kamuli

Ivan Ssenabulya

November 3rd, 2022

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Omuntu omu akakasiddwa okuba nga afiiridde mu kabenje akagudde mu disitulikiti ye Kamuli.

Okusinzira ku mwogezi wa poliisi mu Busoga north Michael Kasadha akabenje kano kagudde mu tawuni kanso ye Kasambira kuluguudo oluva e Kamuli-Jinja.

Agambye nti akabenje kabademu Taxi Registration No UAN 322Z ane pikipiki namba No UFB 577R

Kasadha anyonyodde nti omugoba wa pikipiki ayingiriddwa awa taxi abadde awenyuka obuwewo nga agenzaako okuyisa taxi endala.

Omulambo gwomugoba wa piki piki gutwaliddwa mu ddwaliro e Kamuli okwongera okwekebejebwa.

Akabenje kavudde ku kuvugisa kimama.