Amawulire

Ssaabalabirizi ayagala omukulembeze w’eggwanga ateeke omukono ku bbago ly’ebisiyaga

Ssaabalabirizi ayagala omukulembeze w’eggwanga ateeke omukono ku bbago ly’ebisiyaga

Ivan Ssenabulya

April 6th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye. Ssaabalabirizi wa Uganda Kitaffe mu Katonda Samuel Stephen Kazimba Mugalu, ayagala omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okuteeka omukono ku baggo ku bisiyaga liyambeko okulwanyisa omuze guno ng’ekizimba tekinnaba kusamba daggala.

Ebbago lino lyayisibwa Parliament gyebuvuddeko nga kati mukulembeze w’eggwanga yemuliddwa okulissaako omukono litandike okuteekebwa mu nkola.

Ebbago lino lirimu ebibonerezo ebikakali nga n’okuwanika kalabba mwokatwalidde.

Kati mu bubaka bwe obwa Pasika ng’asinziira mu maka g’obulabirizi e Namirembe, Ssaabalabirizi ategeezezza ng’okulya ebisiyaga bwekiri ekivve ekisanye okulwanyisibwa mu buli mbeera esoboka.

Ono era asiimye ne “Parliament” olw’okukola ogwayo nga bali wamu kitole okutaasa ennono y’eggwanga.