Amawulire

Omuntu 1 afiridde mu muliro ku kibanda kyembaawo e Mbarara

Omuntu 1 afiridde mu muliro ku kibanda kyembaawo e Mbarara

Ivan Ssenabulya

October 25th, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Omuntu omu yafiridde mu muliro nabbambula, ogukutte ekibanda kyembaawo, mu kibuga kye Mbarara okumpi ne paaka ya Bus.

Omuliro guno kisubirwa nti gwatandise ku ssaawa 8 mu kiro ekikesezza olwaleero ngomuliro gulaze negukwata ne galagi zemotoka era mmotoka eziwerako zzezitokomokedde mu muliro guno ku Akiki Nyabongo road.

Gordon Owoweitu, omusubuzi wembaawo yye agambye nti omuliro gwandiba nga gwatandikidde paaka ya bus negulyoka gulanda okudda mu mbawo.

Omubaka wa gavumenti mu kibuga kye Mbarara James Mwesigye ngali wamu ne meeya Robert Kakyebezi bagambye nti bakyetegereza okumanya obulabe nebikoseddwa.

Poliiisi essaawa yonna essubirwa okuvaayo okwogera okulaga okunonyereza wekutuuse.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *