Amawulire

Omumyuka wakulira ebyenjigiriza e Makerere avunaniddwa

Ivan Ssenabulya

January 8th, 2018

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Omumyuka wakulira ebyenjigiriza ku ttendekero e Makerere avunaniddwa mu kooti ewuliriza egyabali benguzi, emisango 4 egyekuusa ku buli bwenguzi nokukozesa obubi wofiisi ye.

Etuusa Lubega Loy Margaret kigambibwa nti aliko byeyadibaga mu mattikira ge ttendekero agomulundi ogwe 67th.

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Muhumuza Edward lugamba nti Etuusa yekobaana namakampuni agamu nabantu ssekinoomu, nagagkukusa okugawa emirimu ku mikolo gyamattikira wabulanga teyagoberera mateeka agokugula nokutunda ebintu.

Abamu ku bogerwako kuliko abakuuma amasaimu, abatunda ebyokunywa, ebimuli nbalala.

Ono abadde mu maaso gomulamuzi we ddala erisooka Peter Fred Lachomin, wabula neyegaana emisango era nakirizibwa nokweyimirirwa ku kakalu ka koti ka kakadde 1 ezobuliwo.

Ajjiddwako ne passporta ye nalagirwa okudda mu kooti nga 8 February wa 2018.

Omulamuzi amulabudde okugioberera opbukwakulizo nobulippo obuli ku kweyimirirwa kwe, kubanaga bwatakikole wakuzibwayo e Luzira.

Emisango yajizza nga 15 February mu 2017 mu wofiis ye ku tenedekero Makerere University.