Amawulire

Omumenyi w’amayumba

Ali Mivule

April 4th, 2013

No comments

house demolished

Abadde agufudde muze okumenya amayumba g’abagenze okukola agudde ku kyookya.

Olwaleero tebimugendde bulungi bwebamukutte lubona ng’aliko byamaze okusiba

Akwatiddwa ye Richard Mukasa ng’abadde amaze okusiba akasawo k’omukazi, bedcover, emizindaalo, ne CD za filimu

Omusajja ono poliisi egenze okumuggya ku batuuze ng’asigaddemu kikuba mukono.

Kyokka omusajja ono akatiddwa yye agamba nti mutembeeyi nga waliwo munne abadde amukwasizza ebintu.

Abamu ku ba poliisi abamutaasizza ku batuuze Bashir Omono agamba nti abantu babadde babbibwa nga bagenze okukola nga ono agenda kubayamba okubabuulira banne.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *