Amawulire

Omuliro mu nkambi ya Poliisi e Ntinda

Omuliro mu nkambi ya Poliisi e Ntinda

Ivan Ssenabulya

April 20th, 2023

No comments

Bya Ritah Kemigisa. Nabbambula w’omuliro asanyizzaawo agamu ku mayumba mu nkambi ya Police e Ntinda mu kilo ekikeesezza leero. Omuliro muno gutwaliddemu ne offiisi ekola ku bidduka mu kitundu ekyo.

Okusinziira ku Poliisi, omuliro guno gwatandikidde mu nkambi nga gwavudde ku bulagajjavu n’oluvanyuma negusasaana okutuuka mu offiisi ekola ku ntambula y’ebidduka essaawa zabadde zikunukkiriza mu 4 ez’ekiro ekikeesezza leero.

Amyuka ayogerera Poliisi mu Kampala n’emilirano Luke Oweyesigire agamba nti omuliro guno oluvanyuma Poliisi yabazikiriza yatuuse nesobola okuguzikiriza.

Okunoonyereza kulaga nti waliwo abaana abakoleezezza kasasiro munda mu nkambi okukakkana nga gukutte waya y’amasanyalaze kwegwarandidde okutuuka mu offiisi.

Oweyesigire agamba nti babadde tebannategeera bintu ki ebyasanyiziddwawo mu muliro guno wadde okumanya oba nga waliwo abagufiiriddemu, wabula ng’okunoonyereza kwo kukyagenda mu maaso.