Amawulire
Omuliro gusse abaana bana e Buwenge.
Bya Ben Jumbe.
E Jinja agavaayo galaga nga abaana 4 bwebafudde nga kino kidiridde omuliro okukwata enyumba mwebasula wano e Buwenge bonna nebasirikka.
Abaana abafudde bamukyala Amina Nampina omutuuze ku kyalo kino, wabula nga naye agamba ekyavirideko omuliro tanakimanya kuba enyumba tebadeemu masanyaraze.
Abatuuze bagamba nti omuliro gukutte enyumba eno nga maama wabwe agenze okubaako byagula ku duuka
Mukaseera kaano emirambo gyabaana bano gitwalidwa mu dwaliro e Buwenge