Amawulire
Omuliro gusanyizaawo akatale e Mubende
Bya Magembe Sabiiti
Abasubuzi abakolera mu katale ka Kiseminti daily market mu West division mu munispaali ye Mubende basobeddwa oluvanyuma lw’omuliro ogukute mu kiro ekikeseezza leero okuleka nga gusanyizawo amaduka agawera 30.
Ssentebe wa katale Ssenkambwe Hussein nabasubuzi batubulidde, ngamaduuka agayidde bwegabadde gaazimbibwa mu mbaawo.
Abakulembeze mu katale kano bategezezza nga bangi ku basubuuzi, ensimbi zebakozesa bwebabadde baazewola.
Wabula apoliisi egamba nti yakaunonyereza okuzuula ddala eivuddeko omuliro guno.