Amawulire

Omulimo gwókuzimba Fulayiova mu Kampala gwakugwa mwaka gujja

Omulimo gwókuzimba Fulayiova mu Kampala gwakugwa mwaka gujja

Ivan Ssenabulya

November 17th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu ggwanga ekya Uganda National Roads Authority-UNRA kyongezaayo obudde bw’okumalirizako omulimu gwókuzimba Kampala flyover okutuuka omwaka ogujja mu mwezi ogwokusatu 2023.

Okusinziira kwakulira ekitongole ya UNRA Allan Kagina, flyover eno ebadde yakumalirizibwa mu mwezi ogujja ogwa December kyokka olw’embeera ezitebeereka ba kontulakita abaweebwa omulimo gwokuzimba bagambye nti tekisoboka kuba nti mu December banaaba bamaze.

Kino kiddiridde ababaka ba Palamenti abatuula ku kakiiko akalondoola emirmu egikolebwa ebitongole bya gavt okubuuza Kagina ebibuuzo ku pulojekiti z’enguudo ezikolebwa mu kibuga ezitambula akasoobo.

Kagina agamba nti okulwawo n’okwongezaayo kyavudde ku kirwadde kya covid-19 ekyakosa n’abakozi oluvannyuma lw’abakozi abamu okulwala, okulwawo okutuusa ebintu ebiyingizibwa mu ggwanga ebikozesebwa mu kuzimba, enkyukakyuka mu mbeera y’obudde, n’ebirala.

Flyover ya Kampala etandikira ku clock tower ng’eyita e Nsambya okutuuka e Kibuli era yakwasibwa kkampuni ya Japan Shimizu Konoike oluvannyuma lwa gavumenti ya Japan okuwa Uganda looni ya bukadde bwa doola za Amerika 200.