Amawulire

Omulangira Nakibinge asabye Gavt ku by’obutebenkevu

Omulangira Nakibinge asabye Gavt ku by’obutebenkevu

Ivan Ssenabulya

June 28th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Omulangira Kassim Nakibinge akulira obusiraamu mu Uganda asabye gavumenti okugumya bannansi ku by’okwerinda, oluvannyuma lw’obulumbaganyi obwakolebwa e Kasese gyebuvuddeko aba Allied Democratic Forces (ADF) abantu 43 ne bafiirwa obulamu bwabwe.

N’effujjo ly’emmundu ery’eyongedde mu bitundu eby’enjawulo wa ggwanga ayagala likwatibweko.

Bwabadde ayogerako eri abakkiriza mu maka ge e Kibuli mu makya ga leero, Nakibinge asabye ab’ebyokwerinda okwongera okubeera obulindaala n’okulaba nga bannansi bonna bafuna emirembe n’okukwatagana ekiseera kyonna.

Ono era alumbye ekitongole kya Kampala Capital City Authority ku mbeera embi ey’enguudo mu kibuga.

Anenyeza KCCA okweyambisa ettaka okuziba ebinnya mu nguudo za kolaasi neyebuuza zigenda kuwangaala bbanga ki ne ttaka eryo.