Amawulire

Omulangira Nakibinge asabye Gavt ku bbeeyi yébintu

Omulangira Nakibinge asabye Gavt ku bbeeyi yébintu

Ivan Ssenabulya

May 2nd, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe ne Ivan Ssenabulya,

Jajja w’obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge asomozza gavumenti ekola ku nsonga yokulinnya kwebbeyi y’ebintu.

Bwabadde ayogera eri abagenyi abakunganidde mu maka ge, oluvanyuma lwokusaala e Kibuli Omulangira Nakibinge agambye nti ensonga tebasaanye kuziragajjalira oba okuzirekera akatale.

Wabula asabye abantu okukendeeza ku bulamu obwokusasanya nokugabagaba ssente bui wamu, basobole okwebezaawo obulungi okuyita mu mbeera eno.

Mungeri yeemu asabye abasiraamu, okunyweza obumu ngagambye nti ngabe Kibuli bagenda kwetaba mu nteseganya nebiwayi ebirala.

Mu bagenyi bakyazizza mu maka ge, kubaddeko omubaka wa America mu Uganda Amb. Natalie Brown nga ye mugenyi omukulu.

Ssentebe wa district ye wakiso Matia Lwanga Bwanika awanjagidde abasiramu okwongera okwegayirira Allah okusobola okutereza egwanga lino livunuke okusomozebwa kweriyitamu.

Bwanika okwogera bino abadde omugenyi omukulu mu kusaala Edi mu muzigiti gwe Naluvule neyetondera abantu olw’okubalonda nga ne babasuubiramu bingi wabula ne batabitukiriza.

Ye Imam w’omuzikigiti gwe Naluvule, Muwonge Sharab Abunakali asabye abasiramu okusigala nga basaala wabula nalaga okwenyamira olwebijambiya ne beeyi yebintu esuse.