Amawulire

Omulamuzi omukulu Flavian Zeija yajja okuwulira okusaba kwa Ssegirinya okwokweyimirirwa

Omulamuzi omukulu Flavian Zeija yajja okuwulira okusaba kwa Ssegirinya okwokweyimirirwa

Ivan Ssenabulya

October 7th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Ensonga z’ababaka ba Palamenti okuli Allan Ssewanyana owa Makindye West ne Muhammed Ssegirinya owa Kawempe North ez’okusaba okweyimirirwa zikyalimu kigoye wezinge.

Puliida wabavunaanwa ategezeddwa ngensonga bwezolekedde ewomulamuzi omukulu Dr Flavian Zeija yajja okuzisalawo.

Bano nga bayita mu ba puliida baabwe aba Lukwago and co advocates baasaba okweyimirirwa nga baalambika ensonga 11 kooti kweba esinsziira okuyimbula abantu baabwe.

Puliida w’ababaka bano Musa Matovu yasiibye yetala ku kooti e Masaka nn’entuuyo azisaza bibatu nga alindiridde okumanya ddi okusaba kw’abantu be lwekunaawulirwa Kyokka avuddeyo buggo oluvannyuma lw’okutegezebwa ng’Omulamuzi nti ensonga zaajulidde.

Ono ayongeddeko ngomuwandiisi wa kooti enkulu Agnes Nkonge bwamutegezezza nga bw’agenda okufuna olukiiko n’akulira abalamuzi ba kooti enkulu oba Principal Judge okusalawo eggoye.

Matovu ategeezezza nga bwakitegeddeko ngabantu be era bwebagguddwako emisango emipya Kyokka nga gino gyakubasomerwa obudde bonna.