Amawulire

Omulamuzi Kayizzi wakukebeza abakwata abaana Endagabutonde

Omulamuzi Kayizzi wakukebeza abakwata abaana Endagabutonde

Ivan Ssenabulya

July 8th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omulamuzi ku kkooti eya Buganda, Road Ronald Kayizzi yewaddeyo okukozesa sente ze akebeze ndagabutonde eza abasajja abaleetebwa mu kkooti ye nga basobeza ku baana abawala abatanetuuka ne babafunyisa embuto ate nebazegaana.

Omulamuzi Kayizzi ategeezezza kkooti nti kino kijja nakumuyamba okusala amazima mu misango jino ejisuuse obunji ensanji zino.

Omulamuzi ono era asazeewo obutawa bantu bwe bati lukisa lwakweyimirwa, ng’agamba nti bwebabata tebadda mu kkooti ate nga yetaaga okubajisaako omusanyi ng’abawala bebaakwata bamaze okuzaala.

Wabula alabudde bamulya buto nti singa ebyomumusaayi bikomawo nga omwana wuwo ate nga omusango wagwegaana, ekibonerezo ekinabaweebwanga kijja kuba kinene nókuliwa ensimbi zaaba asasanyiriza ku kubakebeza omusaayi.

Omulamuzi bino abyogeredde mu kkooti bwabadde awulira omusango gw’omusajja ow’emyaka 28 Nsenga Vian agambibwa okusobya mu mwana omuwala atanetuuka ate namufunyisa nolubu naye nagwegaana.

Omulamuzi era alagidde oludda oluwaabi luyambe omwana ono lumutuuse ku bantu abalabirira abaana abasobezeddwako asobole okufuna obujjanjambi.