Amawulire
Omulambo gw’omwana gusangiddwa mu kidiba
Bya Abubaker Kirunda
Entiisa ebutikidde abatuuze ku Saza road e Iganga bwebagudde ku mulambo gwomwana owomwaka 1 mu kasasiro.
Eyerabiddeko agambye nti omulambo guno gwa mwana muwala, nga gubadde guzingiddwa mu kakutiya, bagenze okusabukulula nga mulambo.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, James Mubi agambye nti poliisi eyitiddwa nebagujjawo okugutwala mu ddwaliro lye Nakavule e Iganga okwekebejebwa.