Amawulire
![Omulambo gusuliddwa e Mubende](https://www.dembefm.ug/wp-content/uploads/crime-1-630x200.jpg)
Omulambo gusuliddwa e Mubende
Bya Magembe Sabiiti
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Kagavu-Kalembe mu gombolola ye Kitenga e Mubende bwebagudde ku mulambo gw’omusajja nga gwasuliddwa okumpi ne Kubo.
Omulambo gw’omuvubuka ono tegusangiddwako kiwundu kyonna nga kiteberzebwa nti abamusse bamunyodde nsingo.
Poliisi e Mubende etuuse mu kifo awabadde omulambo guno nekizulibwa nga gwaleteddwa mu mmotoka kuba wabaddewo emipira gya mmotoka.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala Recheal Kawala ategezezza ngokunonyereza bwekutandiise okuzuula abantu abenyigidde mu ttemu lino.
Omulambo guno gutwaliddwa mu ddwaliro ekkulu e Mubende.