Amawulire

Omulabirizi wé Mukono akubiriza abavubuka okukola enyo

Omulabirizi wé Mukono akubiriza abavubuka okukola enyo

Ivan Ssenabulya

December 28th, 2022

No comments

Bya Kiguli Diphas,

Omulabirizzi we Mukono James William Ssebaggala alabudde abavubuuka okwenyigira mu kukola naddala mu biseera bino ng’enkuuba effuddemba okusinga okwemalira mu betting n’ebintu ebikyamu.

Omulabirizzi agamba nti abavubuuka bangi balekedde abakadde okulima ate nga tebasobola kulisa ggwanga kubanga amannyi gagenze gakeewa.

Ssebaggala era asabye abakristaayo okusigala nga bakakamu ng’ekaniisa bwekola kukyokubawa omulabirizzo omuppya ku ntandikwa y’omwaka ogujja.