Amawulire

Omulabirizi Ssebagala yekkokkodde abavubuka abatagala kola

Omulabirizi Ssebagala yekkokkodde abavubuka abatagala kola

Ivan Ssenabulya

February 17th, 2023

No comments

Bya Kiguli Diphas,

Omulabirizzi we Mukono, James William Ssebaggala yekokodde abavubuuka abongedde okufuuka ba ssemugayavvu ensangi zino nga bangi tebakyagala kukakalukana wabula banyumirwa nnyo okuleera engaalo.

SSebaggala okwogera bino abadde ku kitebe kye ssaaza Kyaggwe wali mu Ggulu e Mukono, bwabadde agenze okusibuula mu butongole nga yetegekera okutuzibwa kw’omulabirizzi omuggya ng’ennaku z’omwezi 26 omwezi guno.

Ono agambye nti newankubadde emyaka 12 gyamaze nga mulabirizzi afubye okulaba ng’ensonga z’abavubuuka zibeera ku mwanjo, wabula kimunakuwaza okulaba nga watukidde okugenda ng’embeera yeyongera kusajjuka busajuusi.

Omwami wa Ssabasajja atwala essaaza Kyaggwe Elijah Bogere Lubanga Mulembya era nga ye ssekiboobo ow’amakuumi 30 atendereza emiriimu egikoleddwa omulabirizzi Ssebaggala era nategeza nti okulafubana kwe tekujja kuffa busa.