Amawulire

Omulabirizi Mwaluda asabye abakristaayo okwegomba abajjulizi

Omulabirizi Mwaluda asabye abakristaayo okwegomba abajjulizi

Ivan Ssenabulya

June 3rd, 2022

No comments

Bya Moses Ndaye,

Omulabirizi eyawummula okuva mu gwanga lya Kenya Samson Mwaluda asabye abakulistaayo okutwala ekyokulabirako ky’abajulizi.

Bishop Mwaluda yakulembeddemu okubuliira ku kiggwa kyaba-Anglican e Nakiyanja.

Agambye nti obubaka buno bukulu nnyo eri abavubuka, bwebanaaba baakunyweza okukiriza kwabwe mu Katonda.

Asabye abakulistaayo, era babeere ku mwanjo okuvumirira ebikolwa ebikyamu n’obutali bwenkanya mu gwanga lyabwe.

Okulamaga kwetabiddwako abakulu njolo mu gavumenti, okuli omumyuka womukulembeze wegwanga Jessica Alupo, Ssabaminisita wegwanga Robinah Nabbanja, omukubiriza wa palamenti Anita Among, eyali omumyuka womukulembeze wegwanga Edward Ssekandi, eyali Ssabaminisita wegwanga Amama Mbabazi, ba minisita nababaka ba palamenti.

Waliwo nabalamazi abavudde mu mawanga okuli Nigeria, Dr Congo, Kenya nawalala.